1Oluyimba nga balinnya amadaala. Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde.
8Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya mu byonoono bye byonna.