1Zabbuli ya Asafu. Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu, ng’alamula bakatonda.
2Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa, nga musalira abanafu?
3Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6Njogedde nti, Muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu; muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi; kubanga amawanga gonna gago.