1Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa?
2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi.
3Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.
4Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga.
5Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro.
7Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo.
8Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.